Online Bible

- Advertisements -




Abalam 7:5 - Luganda Bible 2003

5 Gidiyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti: “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Gidyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti, “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 Awo n'aserengesa abantu ku mazzi: Mukama n'agamba Gidyoni nti Buli anaakomba ku mazzi n'olulimi, ng'embwa bw'ekomba, oyo gw'onooyawulamu; era bw'atyo buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

5 Awo Gidewoni abantu n'abakkiriza ku mugga; Omukama n'amugamba nti: “Abanaakomba obukombi amazzi ng'embwa basse ku luuyi olumu, ate abo abanaafukamira ne banywa basse ku luuyi olulala.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

5 Gidiyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti: “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.”

See the chapter Copy




Abalam 7:5

Follow us:

Advertisements


Advertisements