Abalam 7:15 - Luganda Bible 200315 Gidiyoni bwe yawulira ekirooto ky'omusajja n'amakulu gaakyo, n'asinza Katonda, n'addayo mu lusiisira lw'Abayisirayeli, n'agamba nti “Musituke! Mukama abawadde mmwe okuwangula eggye ly'Abamidiyaani.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 Awo olwatuuka Gidyoni bwe yawulira ekirooto n'amakulu gaakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti, “Mugolokoke; kubanga Mukama agabudde egye lya Midiyaani mu mukono gwammwe.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamuwulira ng'abuulira ekirooto n'okutegeeza kwakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti Mugolokoke; kubanga Mukama agabudde mu mukono gwammwe eggye lya Midiyaani. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU15 Gidewoni bwe yawulira ekirooto n'endootolola yaakyo, n'asinza, n'addayo mu lusiisira lwa Yisirayeli n'agamba nti: “Musituke, kubanga Omukama awaddeyo olusiisira lwa Midiyaani mu mikono gyammwe.” See the chapterLuganda DC Bible 200315 Gidiyoni bwe yawulira ekirooto ky'omusajja n'amakulu gaakyo, n'asinza Katonda, n'addayo mu lusiisira lw'Abayisirayeli, n'agamba nti “Musituke! Mukama abawadde mmwe okuwangula eggye ly'Abamidiyaani.” See the chapter |