Abalam 7:13 - Luganda Bible 200313 Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI13 Gidyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti, “Nnaloose omugaati gwa Sayiri, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya13 Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya13 Awo Gidyoni bwe yatuuka, laba, nga waliwo omusajja abuulira munne ekirooto n'ayogera nti Laba, naloota ekirooto, era, laba, omugaati ogwa sayiri ne gugwa mu lusiisira lwa Midiyaani, ne guyingira mu weema, ne gugikuba n'egwa, ne gugivuunika, eweema n'egalamira bugalamizi. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU13 Gidewoni we yatuukira nga waliwo eyali anyumiza munne ekirooto nti: “Naloose ekirooto; nalabye omugaati gwa sayiri nga guyiringita, ne gukka mu lusiisira lw'Abamidiyaani. Bwe gwatuuse ku weema, ne gugikoona, n'egwa ne yeevuunika n'esaanawo.” See the chapterLuganda DC Bible 200313 Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.” See the chapter |