Abalam 6:19 - Luganda Bible 200319 Awo Gidiyoni n'ayingira mu nnyumba, n'afumba embuzi ento, era n'agoya kilo kkumi ez'obuwunga n'akolamu emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'omukyuzi n'agufuka mu kibya, n'abireeta eri malayika wa Mukama, n'abimuweera wansi w'omuvule. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI19 Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta; ennyama n'agiteeka mu kibbo, omucuuzi gwayo n'aguteeka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya19 Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya19 Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta: ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'amazzi gaayo n'agafuka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU19 Gidewoni n'ayingira, n'afumba akabuzi, n'addira n'efa y'eŋŋano n'afumba emigaati egitazimbulukuse. Ennyama n'agissa mu kisero, omucuuzi n'agussa mu katamu, byonna n'abitwala n'abimuweereza wansi w'omuvule. See the chapterLuganda DC Bible 200319 Awo Gidiyoni n'ayingira mu nnyumba, n'afumba embuzi ento, era n'agoya kilo kkumi ez'obuwunga n'akolamu emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'omukyuzi n'agufuka mu kibya, n'abireeta eri malayika wa Mukama, n'abimuweera wansi w'omuvule. See the chapter |