Online Bible

- Advertisements -




Abalam 5:15 - Luganda Bible 2003

15 N'abakulembeze ba Yissakaari ne bajja ne Debora nga bali bumu ne Baraki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'omu Kika kya Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 N'abakulembeze ba Isakaali ne bajja ne Debola; nga bali bumu ne Balaki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'ekika kya Lewubeeni baateesa ne batasalawo oba nga banaagenda.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; era Isakaali yali wamu ne Baraki. Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu. Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 N'abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; Nga Isakaali bwe yali, ne Balaki bwe yali bw'atyo; Baafubutuka mu kiwonvu (nga balinnya) mu bigere bye. Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 “Abalangira ba Yissakari baali ne Debora, ye Yissakari yali ne Baraki, n'amukkiriza mu kiwonvu. “Mu kika kya Rubeni mwalimu okwerowooza nnyo.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 N'abakulembeze ba Yissakaari ne bajja ne Debora nga bali bumu ne Baraki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'omu Kika kya Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.

See the chapter Copy




Abalam 5:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements