Abalam 5:14 - Luganda Bible 200314 Mu Efurayimu n'evaayo abasibuka mu Ameleki ne bagoberera ab'omu Kika kya Benyamiini. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate n'e Zebbulooni n'evaayo abakungu abasimbisa ennyiriri. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI14 Mu Efulayimu n'evaayo abasibuka mu Amaleki; nga bakugoberera ggwe Benyamini ne baganda bo. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate okuva Zebbulooni n'evaayo abakungu abakwata omuggo gw'oyo asimbisa ennyiriri. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya14 Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu, nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo. Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta, ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya14 Mu Efulayimu ne muva abo abalina ekikolo kyabwe mu Amaleki; Nga bakugoberera ggwe, Benyamini, mu bika byo; Mu Makiri (ne muva) abafuga ne baserengeta, Ne mu Zebbulooni abo abakwata omuggo gw'oyo asimba ennyiriri. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU14 “Baava mu Efurayimu ne bakkirira mu kiwonvu; Benyamiini ng'akuva mabega n'abantu bo. Abagabe baava mu Makiri ne bakkirira, ne mu Zebuluni abo abakutte omuggo gw'obuduumizi. See the chapterLuganda DC Bible 200314 Mu Efurayimu n'evaayo abasibuka mu Ameleki ne bagoberera ab'omu Kika kya Benyamiini. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate n'e Zebbulooni n'evaayo abakungu abasimbisa ennyiriri. See the chapter |