Online Bible

- Advertisements -




Abalam 4:21 - Luganda Bible 2003

21 Sisera yali akooye nnyo, ne yeebaka otulo tungi. Awo Yayeli n'akwata enkondo ya weema n'ennyondo, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi n'eyitamu n'ekwata n'ettaka. Bw'atyo Sisera n'afa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

21 Awo Yayeeri muka Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

21 Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

21 Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

21 Naye Yayeli muka Keberi n'akwata enkondo ya weema, n'abaka n'ennyondo, n'asooba n'agenda we yali nga yeebase olw'obukoowu, n'amukomerera enkondo mu luba n'emuyitamu n'egukka mu ttaka, n'afa.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

21 Sisera yali akooye nnyo, ne yeebaka otulo tungi. Awo Yayeli n'akwata enkondo ya weema n'ennyondo, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi n'eyitamu n'ekwata n'ettaka. Bw'atyo Sisera n'afa.

See the chapter Copy




Abalam 4:21

Follow us:

Advertisements


Advertisements