Abalam 3:19 - Luganda Bible 200319 Naye Ehudi kennyini n'akoma ku mayinja amoole agaali okumpi ne Gilugaali, n'addayo eri Egulooni, n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnina obubaka obw'okukuwa mu kyama.” Awo Kabaka n'alagira abaweereza be nti: “Mutuleke ffekka!” Bonna ne bava w'ali ne bafuluma. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI19 Naye Ekudi kennyini nakoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'addayo eri Eguloni n'amugamba nti, “Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama gyoli Ayi kabaka.” Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “mutuleke fekka!” Bonna ne bava waali ne bafuluma. See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya19 Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya19 Naye ye kennyini n'addayo ng'akoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'ayogera nti Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama eri ggwe, kabaka. N'ayogera nti Musirike. Bonna abaali bayimiridde naye ne bafuluma ne bamuleka. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU19 Naye ye bwe yatuuka ku bifaananyi bya balubaale eby'amayinja, okumpi ne Gilugali, n'afunyamu, n'agamba kabaka nti: “Nnina obubaka bwo, ssebo kabaka, bwa kyama.” Awo kabaka n'alagira nti: “Musirike!” Abaweereza be bonna ne bamuviira. See the chapterLuganda DC Bible 200319 Naye Ehudi kennyini n'akoma ku mayinja amoole agaali okumpi ne Gilugaali, n'addayo eri Egulooni, n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnina obubaka obw'okukuwa mu kyama.” Awo Kabaka n'alagira abaweereza be nti: “Mutuleke ffekka!” Bonna ne bava w'ali ne bafuluma. See the chapter |