Online Bible

- Advertisements -




Abalam 3:15 - Luganda Bible 2003

15 Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu okubanunula, ye Ehudi mutabani wa Gera, Omubenyamiini. Ehudi oyo yali wankonokono. Abayisirayeli ne bakwasa Ehudi ebirabo abitwalire Egulooni kabaka wa Mowaabu.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 Nate abaana ba Isiraeri ne baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali ow'enkonokono. Awo abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 Naye abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali owa kkono: abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 Abayisirayeli ne bawanjagira Omukama, n'abawa omununuzi, Ewudi mutabani wa Gera Omubenyamiini. Yali wa nkonokono. Abayisirayeli ne bamutuma ewa Eguloni abatwalireyo ekirabo kyabwe.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu okubanunula, ye Ehudi mutabani wa Gera, Omubenyamiini. Ehudi oyo yali wankonokono. Abayisirayeli ne bakwasa Ehudi ebirabo abitwalire Egulooni kabaka wa Mowaabu.

See the chapter Copy




Abalam 3:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements