Online Bible

- Advertisements -




Abalam 21:5 - Luganda Bible 2003

5 Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli, abataayambuka mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa?” Baali beeyamye obweyamo obw'amaanyi nti buli atalyambuka Mizupa, yali wa kuttibwa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Abaana ba Isiraeri ne babuuza nti, “Baani mu bika byonna ebya Isiraeri ataagenda mu lukkuŋŋaana olwali e Mizupa?” Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo yenna ataligenda eri Mukama e Mizupa nga boogera nti, “Talirema kuttibwa.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Abaana ba Isirayiri ne beebuuza nti, “Ani ku bika byonna ebya Isirayiri atazze kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda?” Kubanga baali beerayiridde, ng’omuntu yenna alemwa okukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, ateekwa kuttibwa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

5 Abayisirayeli ne bagamba nti: “Ani mu bika bya Yisirayeli byonna atazze mu lukuŋŋaana wa Mukama?” Baali balayidde nti: “Buli yenna atajje mu lukuŋŋaana wa Mukama mu Mizupa wa kuttibwa.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

5 Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli, abataayambuka mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa?” Baali beeyamye obweyamo obw'amaanyi nti buli atalyambuka Mizupa, yali wa kuttibwa.

See the chapter Copy




Abalam 21:5

Follow us:

Advertisements


Advertisements