Online Bible

- Advertisements -




Abalam 21:22 - Luganda Bible 2003

22 Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja gye muli okuvunaana, mubagambanga nti: ‘Tubeegayiridde, mubatulekere, kubanga tetwababanyagaako mu lutalo okubafuula bakazi baffe. Ate nga bwe mutaabatuwa, temulina musango gwa kumenya bweyamo bwammwe.’ ”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

22 Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okuwaaba, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa kubanga tetwabanyagako mu lutalo okubafuula bakazi baffe, so nammwe temwababawa kubanga mwalibadde muzzizza omusango.’ ”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

22 Awo bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balyemulugunya gye tuli, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, era olwokubanga temwababawa, temulina musango.’ ”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

22 Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

22 Bakitaabwe ne bannyinaabwe bwe banajja gye tuli okutuyombesa, tunaabagamba nti: ‘Mutusaasire, nabo mumale gabasonyiwa, kubanga tetwabafunira bakazi mu lutalo, nammwe temwazza musango kubanga bawala bammwe temubabawadde buwi.’ ”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

22 Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja gye muli okuvunaana, mubagambanga nti: ‘Tubeegayiridde, mubatulekere, kubanga tetwababanyagaako mu lutalo okubafuula bakazi baffe. Ate nga bwe mutaabatuwa, temulina musango gwa kumenya bweyamo bwammwe.’ ”

See the chapter Copy




Abalam 21:22

Follow us:

Advertisements


Advertisements