Online Bible

- Advertisements -




Abalam 2:19 - Luganda Bible 2003

19 Naye omukulembeze bwe yafanga, abantu baddanga mu mize gyabwe egy'edda, ne baba babi n'okusinga bajjajjaabwe. Baaweerezanga era baasinzanga balubaale, ne bagaana okulekayo empisa zaabwe embi.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

19 Naye omulamuzi bwe yafanga, abantu baddanga mu bibi byabwe eby'edda nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe wadde okulekayo empisa zaabwe embi.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

19 Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

19 Naye olwatuuka, omulamuzi bwe yamalanga okufa, ne baddanga ennyuma, ne bakola obubi okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe so tebaalekanga kkubo lyabwe kkakanyavu.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

19 Naye omulamuzi bwe yafanga, nga baddayo mu nsobi, nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe mu ngeri gye baagobererangamu balubaale n'okubavunnamira. Ne bagaana okuleka empisa zaabwe embi n'obukakanyavu bwabwe.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

19 Naye omukulembeze bwe yafanga, abantu baddanga mu mize gyabwe egy'edda, ne baba babi n'okusinga bajjajjaabwe. Baaweerezanga era baasinzanga balubaale, ne bagaana okulekayo empisa zaabwe embi.

See the chapter Copy




Abalam 2:19

Follow us:

Advertisements


Advertisements