Online Bible

- Advertisements -




Abalam 2:18 - Luganda Bible 2003

18 Mukama bwe yawanga Abayisirayeli omukulembeze, Mukama yayambanga omukulembeze oyo, era yabawonyanga abalabe baabwe, ebbanga lyonna omukulembeze lye yamalanga nga mulamu. Mukama yabakwatirwanga ekisa, kubanga baasindanga olw'okubonyaabonyezebwa n'okunyigirizibwa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

18 Buli Mukama lwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi oyo, n'abawonyanga abalabe baabwe ebbanga lyonna omulamuzi oyo lye yamalanga nga mulamu; kubanga Mukama yabakwatiranga ekisa olw'okusinda kwabwe olw'abo ababeeraliikirizanga.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

18 Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

18 Era Mukama bwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi, n'abalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe ennaku zonna ez'omulamuzi: kubanga Mukama ne yejjusa olw'okusinda kwabwe olw'abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

18 Omukama bwe yabateekerangawo omulamuzi, nga Omukama abeera n'omulamuzi n'abanunula mu mikono gy'abalabe baabwe mu bbanga lye yamalanga ng'alamula. Anti Omukama yabakwatirwanga ekisa ng'alabye bwe basinda ennaku olw'abaabayigganyanga n'abaabanyigirizanga.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

18 Mukama bwe yawanga Abayisirayeli omukulembeze, Mukama yayambanga omukulembeze oyo, era yabawonyanga abalabe baabwe, ebbanga lyonna omukulembeze lye yamalanga nga mulamu. Mukama yabakwatirwanga ekisa, kubanga baasindanga olw'okubonyaabonyezebwa n'okunyigirizibwa.

See the chapter Copy




Abalam 2:18

Follow us:

Advertisements


Advertisements