Abalam 12:3 - Luganda Bible 20033 Bwe nalaba nga temunziruukiridde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nsala ensalo okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa okubawangula. Kale lwaki mujja gye ndi okunnwanyisa?” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Awo bwe nnalaba nga temunnyambye, obulamu bwange ne mbuwaayo ne nsomoka ne ŋŋenda okulwana n'abaana ba Amoni. Mukama n'abagabula mu mukono gwange, kale kiki ekibaleese leero okulwana nange?” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 Awo bwe nnalaba nga temundokodde, obulamu bwange ne mbuteeka mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n'abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange: kale kiki ekibalinnyisa leero gye ndi okulwana nange? See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU3 Nalaba temunnyamba, ne ntunda omwoyo, ne nsomoka okulumba Abammoni; ekirungi Omukama n'annyamba ne mbawangula. Kati lwaki muzze okunnwanyisa?” See the chapterLuganda DC Bible 20033 Bwe nalaba nga temunziruukiridde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nsala ensalo okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa okubawangula. Kale lwaki mujja gye ndi okunnwanyisa?” See the chapter |