Abalam 11:35 - Luganda Bible 200335 Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI35 Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.” See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya35 Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya35 Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU35 Bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti: “O, Mwana wange onzise! Ondeetedde emitawaana! Naye nalagaanya Omukama, sikyayinza kukola bulala.” See the chapterLuganda DC Bible 200335 Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!” See the chapter |