Online Bible

- Advertisements -




Abalam 11:17 - Luganda Bible 2003

17 Awo ne batuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumusaba abakkirize okuyita mu nsi ye. Kyokka kabaka wa Edomu n'atabakkiriza. Abayisirayeli ne basigala e Kadesi.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

17 Awo Isiraeri n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde, ka mpite mu nsi yo;’ naye kabaka wa Edomu n'atayinza kuwulira. Era n'atumira bw'atyo ne kabaka wa Mowaabu, naye n'atakkiriza, Isiraeri n'atuula mu Kadesi.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

17 Isirayiri yatuma ababaka eri kabaka wa Edomu nga bamusaba bayitemu buyisi mu nsi ye. Naye ye teyabawuliriza. Isirayiri n’atuma n’ababaka eri kabaka wa Mowaabu, naye n’atabakkiriza kuyitamu. Isirayiri kyeyava asigala e Kadesi.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

17 Isiraeri n'alyoka atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti Nkwegayirira, ka mpite mu nsi yo: naye kabaka wa Edomu n'atawulira. Era n'atumira bw'atyo kabaka wa Mowaabu: naye n'atayagala: Isiraeri n'atuula mu Kadesi.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

17 Awo Yisirayeli n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'asaba nti: “Nzikiriza nkutulire mu nsi yo.” Naye kabaka wa Edomu teyawuliriza. N'atuma n'ewa kabaka w'e Mowabu; naye era teyamuganya. Awo Yisirayeli kwe kusigala mu Kadesi.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

17 Awo ne batuma ababaka eri kabaka wa Edomu okumusaba abakkirize okuyita mu nsi ye. Kyokka kabaka wa Edomu n'atabakkiriza. Abayisirayeli ne basigala e Kadesi.

See the chapter Copy




Abalam 11:17

Follow us:

Advertisements


Advertisements