Online Bible

- Advertisements -




Abalam 11:13 - Luganda Bible 2003

13 Kabaka w'Abammoni n'addamu ababaka ba Yefuta nti: “Abayisirayeli bwe baava mu Misiri, baatwala ekitundu ky'ensi yange, okuva ku Mugga Arunoni, okutuuka ku Mugga Yabboki, ne ku Mugga Yorudaani. Kale kaakano ekitundu ekyo mukituddize lwa mirembe.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

13 Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isiraeri bweyava mu Misiri yatwala ensi yange, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani, kale kaakano munzirize ensi yange mu mirembe.”

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

13 Kabaka w’abaana ba Amoni n’addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isirayiri bwe baali bava e Misiri baatwala ensi yange okuva ku Alunoni ne ku Yaboki n’okutuukira ddala ku Yoludaani. Kaakano gituddize lwa mirembe.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

13 Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti Kubanga Isiraeri yanziyako ensi yange bwe yayambuka okuva mu Misiri, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani: kale kaakano zizze ensi ezo lwa mirembe.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

13 Kabaka w'Abammoni n'ayanukula ababaka ba Yefuta nti: “Kubanga Yisirayeli bwe yava e Misiri, yanyaga ensi yange, okuva ku Arunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yorudani. Kale nno ginzirize mu ddembe.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

13 Kabaka w'Abammoni n'addamu ababaka ba Yefuta nti: “Abayisirayeli bwe baava mu Misiri, baatwala ekitundu ky'ensi yange, okuva ku Mugga Arunoni, okutuuka ku Mugga Yabboki, ne ku Mugga Yorudaani. Kale kaakano ekitundu ekyo mukituddize lwa mirembe.”

See the chapter Copy




Abalam 11:13

Follow us:

Advertisements


Advertisements