Online Bible

- Advertisements -




Abalam 1:3 - Luganda Bible 2003

3 Ab'Ekika kya Yuda ne bagamba ab'Ekika kya Simyoni nti: “Mujje tugende ffenna mu kitundu ekiweereddwa ffe tulwanyise Abakanaani nga tuli wamu. Era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu ekiweereddwa mmwe.” Awo ab'Ekika kya Simyoni

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

3 Ab'ekika kya Yuda ne bagamba ab'ekika kya Simyoni nti, “Mujje tugende fenna mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani nga tuli wamu; era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu kyammwe ekyabaweebwa.” Awo ab'ekika kya Simyoni ne bagenda nabo.

See the chapter Copy

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

3 Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

3 Yuda n'agamba Simyoni muganda we nti Ogende nange mu mugabo gwange, tulwanyise Abakanani; era nange bwe ntyo ndigenda naawe mu mugabo gwo. Awo Simyoni n'agenda naye.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

3 Awo ab'ekika kya Yuda ne basaba baganda baabwe ab'ekika kya Simewoni nti: “Mujje tugende mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanaani, naffe tulibalwanirako ku kitundu kyammwe.” Ab'ekika kya Simewoni ne bagenda nabo.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

3 Ab'Ekika kya Yuda ne bagamba ab'Ekika kya Simyoni nti: “Mujje tugende ffenna mu kitundu ekiweereddwa ffe tulwanyise Abakanaani nga tuli wamu. Era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu ekiweereddwa mmwe.” Awo ab'Ekika kya Simyoni

See the chapter Copy




Abalam 1:3

Follow us:

Advertisements


Advertisements