Abaefeso 2:11 - Luganda Bible 200311 Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI11 Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono; See the chapterEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya11 Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono; See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU11 Awo no mujjukire ng'olumu mwali b'amawanga mu buzaale obw'omubiri, nga muyitibwa abatali batayirire abo abatayirire ab'okutayirirwa okwali okw'omubiri nga kukoleddwa bantu, See the chapterLuganda DC Bible 200311 Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita. See the chapter |