Matayo 2:16 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI16 Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya16 Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU16 Erode bwe yalaba ng'abasajja bakalimagezi bamuguumaazizza, n'akalala nnyo; n'atuma n'atta mu Beteleemu ne mu byalo ebiriraanyeewo abaana bonna ab'obulenzi abaakamala emyaka ebiri n'okukka wansi, ng'alabira mu biro byennyini bye yabuulirizaamu abasajja bakalimagezi. See the chapterLuganda DC Bible 200316 Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye. See the chapterLuganda Bible 200316 Awo Herode bwe yalaba ng'abasajja abeetegereza eby'emmunyeenye bamutebuse, n'asunguwala nnyo, n'alagira okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Betilehemu ne ku miriraano gyakyo, ab'emyaka ebiri, n'abaali batannagiweza, okusinziira ku kiseera kye yabuuliriza ku basajja abeetegereza eby'emmunyeenye. See the chapter |