Malaki 2:17 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya17 Mukama mumukooyezza n’ebigambo byammwe. Naye mubuuza nti, “Tumukooyezza tutya?” Kubanga mwogera nti buli akola ekibi, mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba nti, “Ali ludda wa Katonda ow’obwenkanya?” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI17 Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti, “Twamukooya tutya?” Kubanga mwogera nti, “Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira;” oba nga mwebuuza nti, “Katonda omwenkanya ali ludda wa?” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya17 Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa? See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU17 Omukama mumukooyezza n'ebigambo byammwe. Mubuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Bwe mugamba nti: “Bonna abakola ekibi balungi mu maaso g'Omukama, era naye abasanyukira,” oba nti: “Katonda alamuza obwenkanya aluwa?” See the chapterLuganda DC Bible 200317 Mukooyezza Mukama n'ebigambo bye mwogera. Naye mwebuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Mumukooyezza nga mugamba nti: “Buli akola ebibi, aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira.” Oba nga mwebuuza nti: “Katonda omwenkanya ali ludda wa?” See the chapterLuganda Bible 200317 Mukooyezza Mukama n'ebigambo bye mwogera. Naye mwebuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Mumukooyezza nga mugamba nti: “Buli akola ebibi, aba mulungi mu maaso ga Mukama, era Mukama amusanyukira.” Oba nga mwebuuza nti: “Katonda omwenkanya ali ludda wa?” See the chapter |