Malaki 2:16 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya16 “Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana,” bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, “n’omusajja ajooga mukazi we,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI16 “Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya16 Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU16 “Nkyayira ddala abafumbo okwawukana, Omukama Katonda wa Yisirayeli y'agamba, n'omuntu okubikka ekyambalo kye n'obukambwe, Omukama w'Amagye y'agamba.” Kale nno weekuume oleme kumenya bwesigwa. See the chapterLuganda DC Bible 200316 Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.” See the chapterLuganda Bible 200316 Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Nkyawa okwawukana kw'abafumbo, ng'omusajja akola eky'obukambwe okugoba mukazi we. Kale mwekuumenga, waleme kubaawo atali mwesigwa.” See the chapter |