Makko 2:22 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI22 Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge guyiika n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya22 Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonoonekaz; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU22 Era tewali afuka vviini nsu mu nsawo nkadde; bw'akola atyo, evviini eyabya ensawo, evviini n'efiira bwereere, n'ensawo ne zifa. Naye evviini ensu eteekebwa mu nsawo mpya.” See the chapterLuganda DC Bible 200322 Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.” See the chapterLuganda Bible 200322 Era omwenge ogw'emizabbibu omusu tegufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba enkadde. Singa kino kikolebwa, guzaabya, omwenge ogwo n'ensawo n'obifiirwa. Naye omwenge ogw'emizabbibu omusu, gufukibwa mu nsawo zaagwo ez'amaliba empya.” See the chapter |