Online Bible

- Advertisements -




Makko 2:12 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

12 Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

12 N'agolokoka, amangwago ne yeetikka ekitanda kye, n'afuluma nga bonna balaba. Awo bonna ne beewuunya ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti, “Tetulabangako kintu bwe kiti.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

12 N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

12 Ye n'asituka amangu ago, n'akwata olunnyo lwe, n'afuluma ebweru bonna nga balaba. Bonna ne bawuniikirira, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti: “Tetulabanga kiringa kino!”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

12 Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

12 Amangwago, omusajja n'ayimirira, bonna nga balaba, n'asitula akatanda ke, n'atambula. Bonna ne bawuniikirira, ne batendereza Katonda, ne bagamba nti: “Kino tetukirabangako!”

See the chapter Copy




Makko 2:12

Follow us:

Advertisements


Advertisements