Online Bible

- Advertisements -




Luusi 4:6 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

6 Amangwago, omusajja n’addamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

6 Ow'oluganda ow'okumpi n'ayogera nti, “Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze, ggwe weetwalire okununula kwange okwo, kubanga nze sijja kukinunula.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

6 Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

6 Eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'agamba nti: “Sijja kulinunula, kubanga bwe nkikola, nzija kugootaanya eby'obusika by'omu nnyumba yange. Ggwe linunule, nze sijja kusobola.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

6 Oli n'addamu nti: “Oba bwe guli, siyinza kukyenunulira, kubanga abaana abange tebalikisikira. Obuyinza mbulekedde ggwe, okinunule.”

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

6 Oli n'addamu nti: “Oba bwe guli, siyinza kukyenunulira, kubanga abaana abange tebalikisikira. Obuyinza mbulekedde ggwe, okinunule.”

See the chapter Copy




Luusi 4:6

Follow us:

Advertisements


Advertisements