Online Bible

- Advertisements -




Luusi 2:20 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

20 Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi baffe ddala.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

20 Nawomi n'agamba muka mwana we nti, “Mukama awe omusajja oyo omukisa. Mukama atuukirize by'asuubiza abalamu n'abafu. Omusajja oyo muganda waffe ddala, y'omu ku banunuzi baffe.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

20 Nawomi n'agamba muka mwana we nti Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n'eri abaafa. Nawomi n'amugamba nti Omusajja oyo muganda waffe ddala, omu ku banunuzi baffe.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

20 Ko Nawomi nti: “Omukama amuwe omukisa, oyo ataggya kisa kye ku balamu n'abafu.” Ate n'amugamba nti: “Oyo wa luganda lwaffe; ali mu abo abalina obuvunaanyizibwa okutununula.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

20 Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.”

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

20 Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.”

See the chapter Copy




Luusi 2:20

Follow us:

Advertisements


Advertisements