Online Bible

- Advertisements -




Luusi 2:15 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 Awo Luusi bwe yali azzeeyo okulonda ebirimba, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti, “Mumulekenga n'alonda ne mu binywa so temumugananga.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 Awo bwe yagolokoka okulonda, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti Alonde ne mu binywa so temumuvumanga.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

15 Bwe yasituka alonderere ebirimba, Bowazi n'alagira abalenzi be nti: “Ne bw'akuŋŋaanya mu binywa, temumusobeza.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

15 Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

15 Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana.

See the chapter Copy




Luusi 2:15

Follow us:

Advertisements


Advertisements