Online Bible

- Advertisements -




Luusi 2:13 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

13 Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

13 Luusi n'addamu nti, “Ondaze ekisa Mukama wange; era onsanyusizza kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

13 Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

13 Ne Ruusi n'agamba nti: “Mukama wange, singa nno nnyongedde okusanga ekisa mu maaso go! Onkubagizza, n'oŋŋumya newandibadde nga sisaanira na kubeera omu ku bawala bo abakuweereza.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

13 Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!”

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

13 Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!”

See the chapter Copy




Luusi 2:13

Follow us:

Advertisements


Advertisements