Lukka 2:34 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya34 Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI34 awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti, “ Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga n'abalala bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya34 awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa; See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU34 Simewoni n'abaagaliza omukisa; ate n'agamba Mariya nnyina nti: “Ono ateekeddwawo ku lw'okuzikirira ne ku lw'okuzuukira kw'abangi mu Yisirayeli; era aliba akabonero ke banaawakanyanga; See the chapterLuganda DC Bible 200334 Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya, See the chapterLuganda Bible 200334 Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya, See the chapter |