Koseya 2:9 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya9 “Kyendiva neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde, ne wayini wange ng’atuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI9 Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne mmuggyako ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya9 Kyendiva nkomyawo eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU9 Aliwondera baganzi be, naye tagenda kubatuuka; alibanoonya, naye talibazuula; awo aligamba nti: ‘Ka nzireyo eri musajja wange eyasooka, kubanga olwo nali bulungi okusinga bwe ndi kati.’ See the chapterLuganda DC Bible 20039 Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala. See the chapterLuganda Bible 20039 Kyendiva mmuggyako eŋŋaano yange n'omwenge mu kiseera eky'amakungula, era ne mmuggyako n'engoye ez'ebyoya by'endiga, n'ez'enjaaye ze namuwa okwambala. See the chapter |