Kaggayi 2:16 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya16 Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI16 byali bitya? Mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu y'eŋŋaano, ey'ebigera abiri (20) waabangawo kkumi (10) jjereere; omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita ataano (50), nga mulimu abiri (20) meereere. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya16 mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu ey'ebigera amakumi abiri waabangawo kkumi jjereere: omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita amakumi ataano, nga mulimu amakumi abiri meereere. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU16 mwali muli mutya? Oli bwe yajjanga ku ntuumu y'ebipimo amakumi abiri, kwalingako kkumi. Bwe yagendanga ku ttogero ly'omwenge aseneko ebipimo amakumi ataano, mwabangamu amakumi abiri. See the chapterLuganda DC Bible 200316 omuntu bwe yajjanga ku ntuumu y'eŋŋaano, ng'asuubira okusangako kilo ebikumi bibiri, waabangawo kikumi kyokka. Bwe yajjanga ku ssogolero okusena lita ekikumi ez'omwenge ogw'emizabbibu, yasenangamu amakumi ana gokka. See the chapterLuganda Bible 200316 omuntu bwe yajjanga ku ntuumu y'eŋŋaano, ng'asuubira okusangako kilo ebikumi bibiri, waabangawo kikumi kyokka. Bwe yajjanga ku ssogolero okusena lita ekikumi ez'omwenge ogw'emizabbibu, yasenangamu amakumi ana gokka. See the chapter |