Kaggayi 2:14 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya14 Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI14 Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti, “Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya14 Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU14 Aggayi n'ayanukula n'agamba nti: “Bwe kityo nno n'abantu bano, eggwanga lino, bwe bali mu maaso gange, Omukama y'agamba. Buli kyonna kye bakola n'emikono gyabwe na byonna bye baweerereza wano si birongoofu! See the chapterLuganda DC Bible 200314 Awo Haggayi n'agamba nti: “Mukama agamba nti: Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu b'eggwanga lino, ne ku byonna bye bakola. Buli kye baleeta wano mu maaso gange, si kirongoofu.” See the chapterLuganda Bible 200314 Awo Haggayi n'agamba nti: “Mukama agamba nti: Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu b'eggwanga lino, ne ku byonna bye bakola. Buli kye baleeta wano mu maaso gange, si kirongoofu.” See the chapter |