Online Bible

- Advertisements -




Et 9:9 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

9 Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

9 Bwe nnalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, n'amalayo ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere so nga ssinywa mazzi.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

9 Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

9 luli lwe nayambuka olusozi nfuneyo empande z'amayinja, empande ez'endagaano Omukama gye yakola nammwe, ne nsigala eyo mu lusozi ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mugaati, wadde okunywa amazzi.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

9 Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

9 Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi.

See the chapter Copy




Et 9:9

Follow us:

Advertisements


Advertisements