Et 9:4 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya4 Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI4 Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubagoba mu maaso gammwe, temwogeranga mu mitima gyammwe nti, Tuwangudde ensi eno olw'obutuukirivu bwaffe; kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama ky'ava agagoba mu maaso go. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya4 Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nti Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU4 Omukama Katonda wo bw'amalanga okubakugoberawo, togambanga mu mutima gwo nti: ‘Omukama yandeeta ne ntwala ensi eno lwa kubeera butuukirivu bwange.’ Ekituufu kye kino, nti amawanga ago Omukama ajja kugakugoberawo kubanga mabi. See the chapterLuganda DC Bible 20034 “Mukama Katonda wammwe bw'alimala okugobamu abantu abo mu nsi eyo mmwe nga mutuuka, temugambanga mu mitima gyammwe nti: ‘Mukama atuleese mu nsi eno okugyefuga, lwa butuukirivu bwaffe.’ Wabula mmwe nga mutuuka, ajja kugobamu abantu b'amawanga ago, lwa bibi byabwe. See the chapterLuganda Bible 20034 “Mukama Katonda wammwe bw'alimala okugobamu abantu abo mu nsi eyo mmwe nga mutuuka, temugambanga mu mitima gyammwe nti: ‘Mukama atuleese mu nsi eno okugyefuga, lwa butuukirivu bwaffe.’ Wabula mmwe nga mutuuka, ajja kugobamu abantu b'amawanga ago, lwa bibi byabwe. See the chapter |