Et 9:18 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya18 Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI18 Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, okumala ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere era nga ssinywa mazzi olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ebibi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya18 Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU18 Ne nziramu ne neeyala mu maaso g'Omukama ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, olw'okubeera ebibi byamwe byonna; mwayonoona mu maaso g'Omukama, ne mumunyiiza. See the chapterLuganda DC Bible 200318 Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, nga bwe nakola mu kusooka. Ne mmala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, kubanga mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama. See the chapterLuganda Bible 200318 Ne nvuunama mu maaso ga Mukama, nga bwe nakola mu kusooka. Ne mmala ennaku amakumi ana, emisana n'ekiro nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, kubanga mwali mukoze ekibi ne munyiiza Mukama. See the chapter |