Et 9:12 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI12 Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’ See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya12 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU12 Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Vva wano mangu okkirire, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri bakoze ekibi; bavudde mu kkubo lye nabalagira, bakoze ekifaananyi ekisaanuuse.’ See the chapterLuganda DC Bible 200312 “Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’ See the chapterLuganda Bible 200312 “Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’ See the chapter |