Et 8:3 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 N'abatoowaza n'abalumya enjala, n'abaliisa emmaanu gye mwali temumanyi wadde bajjajjammwe, alyoke abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula n'olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 N'akutoowaza n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU3 Yakutoowaza n'akulumya enjala, ate n'akuliisa ne manu, ggwe ne bajjajjaabo gye mwali mutamanyi, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu lwa mugaati gwokka, naye n'olw'ekigambo kyonna ekifuluma mu kamwa k'Omukama. See the chapterLuganda DC Bible 20033 Yabatoowaza n'abaleka okulumwa enjala, ate n'abagabula mannu, mmwe ne bajjajjammwe gye mwali mutamanyi, abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula aba mulamu na buli kigambo Mukama ky'ayogera. Mat 4:4; Luk 4:4; Yow 6:31,49,58; Beb 9:4; Kub 2:17 See the chapterLuganda Bible 20033 Yabatoowaza n'abaleka okulumwa enjala, ate n'abagabula mannu, mmwe ne bajjajjammwe gye mwali mutamanyi, abayigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula aba mulamu na buli kigambo Mukama ky'ayogera. Mat 4:4; Luk 4:4; Yow 6:31,49,58; Beb 9:4; Kub 2:17 See the chapter |