Et 5:29 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya29 Singa nno bulijjo emitima gyabwe gibeera bwe gityo; ne bantya, era ne bagonderanga amateeka gange gonna, ne balyoka balaba ebirungi awamu n’abaana baabwe emirembe gyonna! See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI29 Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezadde lyabwe; bandibadde bulungi ennaku zonna! See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya29 Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n'okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n'abaana baabwe emirembe gyonna! See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU29 Singa nno bafuna omutima oguntya ne bakwatanga ebiragiro byange byonna bulijjo, balyoke babeere bulungi, bo n'abaana baabwe emirembe gyonna! See the chapterLuganda DC Bible 200329 Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, ne bakuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezzadde lyabwe bandibaddenga bulungi ennaku zonna! See the chapterLuganda Bible 200329 Kale singa bulijjo baba n'omutima ng'ogwo, ne bakuumanga ebiragiro byange byonna, bo n'ezzadde lyabwe bandibaddenga bulungi ennaku zonna! See the chapter |