Et 3:28 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya28 Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI28 Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya28 Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU28 Tongoza Yoswa, mukalangule, omugumye, kubanga y'anaasomosa eggwanga lino, era y'alibagabira ensi gy'onoolaba.’ See the chapterLuganda DC Bible 200328 Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’ See the chapterLuganda Bible 200328 Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’ See the chapter |