Et 20:8 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya8 Abaami banaayongeranga okwogera eri eggye nga bagamba nti, “Waliwo mu mmwe omutiitiizi, oba aweddemu amaanyi mu mutima? Kimusaanidde addeyo mu maka ge, si kulwa ng’aleetera banne omutima omutiitiizi.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI8 Abakulu baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti, Muntu ki wano atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwamu omutima nga ye. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya8 Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU8 “Ebyo bwe biggwanga okwogera, abakulu b'ebibinja bagattangako nti: ‘Waliwo yenna atidde oba ow'omutima ogumutekemuse? Addeyo ewaabwe, sikulwa ng'aleetera baganda be okutekemuka mu mutima.’ See the chapterLuganda DC Bible 20038 “Abakulu mu ggye era baneeyongeranga okugamba abaserikale nti: ‘Wano waliwo atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwaamu omutima nga ye.’ See the chapterLuganda Bible 20038 “Abakulu mu ggye era baneeyongeranga okugamba abaserikale nti: ‘Wano waliwo atidde era aweddemu omutima? Oyo addeyo eka, sikulwa nga ne banne baggwaamu omutima nga ye.’ See the chapter |