Online Bible

- Advertisements -




Et 2:9 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

9 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

9 Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Tososonkereza Mowaabu so tobawakulako lutalo; kubanga sijja kukuwa butaka ku nsi yaabwe; kubanga nnamala dda okuwa abaana ba Lutti, Ali okuba obutaka bwabwe. ’ ”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

9 Mukama n'aŋŋamba nti Tosunguwaza Mowaabu so tolwana nabo mu lutalo: kubanga sijja kukuwa ku nsi ye okuba obutaka; kubanga nawa abaana ba Lutti Ali okuba obutaka.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

9 Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Totulugunya Bamowabu, era tobalumbagana, kubanga sijja kukuwa kantu ku nsi yaabwe, kubanga abazzukulu ba Loti nabawa Ari, y'eba ebeera ensi yaabwe.’

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

9 Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Temutawaanya bantu b'e Mowaabu, era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu ku nsi yaabwe okuba obutaka bwammwe, kubanga ekibuga Ari nakiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ”

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

9 Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Temutawaanya bantu b'e Mowaabu, era temubaggulako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa kitundu na kimu ku nsi yaabwe okuba obutaka bwammwe, kubanga ekibuga Ari nakiwa dda bazzukulu ba Looti okuba obutaka bwabwe.’ ”

See the chapter Copy




Et 2:9

Follow us:

Advertisements


Advertisements