Online Bible

- Advertisements -




Et 19:5 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Ekyokulabirako, singa omuntu agenda ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 ng'omuntu bw'ayingira mu kibira ne munne okutema omuti, n'agalula embazzi n'omukono gwe okutema omuti, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'egwa ku munne, n'okufa n'afa; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'aba mulamu:

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

5 okugeza, ng'oli agenze ne munne mu kibira okutema emiti, bw'awuuba embazzi, omutwe gw'embazzi ne guweekuka ku muyini ne gukuba munne n'afa, oyo addukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, n'awona.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

5 Okugeza, singa omuntu ayingira ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

5 Okugeza, singa omuntu ayingira ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.

See the chapter Copy




Et 19:5

Follow us:

Advertisements


Advertisements