Online Bible

- Advertisements -




Et 19:4 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

4 Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

4 Oyo anattanga omuntu nga tagenderedde, so nga gw'asse tabadde mulabe we, annaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

4 Era eno ye nsonga y'oyo atta omuntu anaddukiranga omwo n'aba nga mulamu: buli anattanga munne nga tamanyiridde, so nga tamukyawanga lubereberye;

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

4 “Lino lye tteeka ku muntu asse munne bw'aba addukiddeyo okwewonya: Oli attanga munne mu butanwa nga tebwali bukyayi mu kusooka oba mu kugenderera,

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

4 Omussi anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe, ye oyo anaabanga asse omuntu mu butali bugenderevu, era nga gw'asse tabadde mulabe we.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

4 Omussi anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe, ye oyo anaabanga asse omuntu mu butali bugenderevu, era nga gw'asse tabadde mulabe we.

See the chapter Copy




Et 19:4

Follow us:

Advertisements


Advertisements