Online Bible

- Advertisements -




Et 12:3 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

3 bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

3 Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

3 era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

3 Mumenyangawo emyaliiro gyabwe, mwasaayasanga amayinja ge basimbye, empagi za Asera muzookyanga mu muliro, n'ebifaananyi bya balubaale bye basinza mubitemangawo, n'amannya gaabwe mugasangulangawo mu bifo ebyo.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

3 Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

3 Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo.

See the chapter Copy




Et 12:3

Follow us:

Advertisements


Advertisements