Eseza 2:15 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala eyakuzibwa Moluddekaayi, ate nga muwala wa Abikayiri, eyalina oluganda ku Moluddekaayi, bwe lwatuuka okugenda eri Kabaka, Eseza talina birala bye yasaba okuggyako ebyo Kegayi, omulaawe wa Kabaka bye yamuwa. Era Eseza n’aganja mu maaso g’abo bonna abaamutunuulira. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto, gwe yali atwalanga omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira. See the chapterLuganda DC Bible 200315 Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako. See the chapterLuganda Bible 200315 Esiteeri, muwala wa Abihayili, kitaawe omuto owa Moruddekaayi, era Moruddekaayi gwe yayola ng'omwana we ddala, bwe yatuusa ekiseera kye eky'okugenda eri kabaka, talina bye yasaba, okuggyako ebyo Hegayi omulaawe wa kabaka, era eyali alabirira abakazi, bye yamugamba, era ne yeewuunyisa buli eyamulabako. See the chapter |