Eseza 2:12 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya12 Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI12 Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwatuuka okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ebyetaagisa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri (12), kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaali bwe zityo, emyezi mukaaga baasimulwanga amafuta ag'omugavu, n'emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu ebirala eby'okulongoosa abakazi. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya12 Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwajja okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri, (kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaatuukiriranga bwe zityo, emyezi mukaaga amafuta ag'omugavu, n'emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu eby'okulongoosa abakazi,) See the chapterLuganda DC Bible 200312 Oluwalo olwa buli muwala okutwalibwa eri Kabaka Ahaswero nga terunnatuuka, omuwala yamalanga kufumbirirwa okumala omwaka mulamba, ng'etteeka ku bakazi bwe lyali: emyezi mukaaga ng'asiimuulwa n'omuzigo ogwa mmira, ate emyezi emirala omukaaga ng'asiimuulwa n'ebyobuwoowo, era n'ebirala ebikola ku bakazi. See the chapterLuganda Bible 200312 Oluwalo olwa buli muwala okutwalibwa eri Kabaka Ahaswero nga terunnatuuka, omuwala yamalanga kufumbirirwa okumala omwaka mulamba, ng'etteeka ku bakazi bwe lyali: emyezi mukaaga ng'asiimuulwa n'omuzigo ogwa mmira, ate emyezi emirala omukaaga ng'asiimuulwa n'ebyobuwoowo, era n'ebirala ebikola ku bakazi. See the chapter |