Online Bible

- Advertisements -




Danyeri 3:27 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

27 Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

27 Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

27 N'abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziwaanyisibbwa, so n'olusu lw'omuliro nga terubabaddeeko.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

27 Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

27 Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro.

See the chapter Copy




Danyeri 3:27

Follow us:

Advertisements


Advertisements