Danyeri 2:40 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya40 Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI40 Obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya bintu byonna. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya40 N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyaamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibetenta ebyo byonna, bwe bulimenyaamenya bwe bulibetenta bwe butyo. See the chapterLuganda DC Bible 200340 Obwakabaka obwokuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya ebintu byonna ne kibijeemulula. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna. See the chapterLuganda Bible 200340 Obwakabaka obwokuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya ebintu byonna ne kibijeemulula. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna. See the chapter |