Online Bible

- Advertisements -




Abalam 9:48 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

48 ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.”

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

48 Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye ne balinnya ku lusozi Zalumoni; Abimereki n'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, naalikwata naalissa ku kibegabega kye, n'agamba abantu abaali naye nti, “mwanguwe mukole nga bwe nkoze.”

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

48 Awo Abimereki n'alinnya ku lusozi Zalumoni, ye n'abantu bonna abaali naye; Abimereki n'addira embazzi mu ngalo ze, n'atema ettabi ku miti, n'alironda, n'aliteeka ku kibegabega kye: n'agamba abantu abaali naye nti Kye mulabye nga nze nkikoze, mwanguwe mukole nga bwe nkoze.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

48 n'alinnya ku lusozi Zalumoni n'abantu be bonna, n'akwata embazzi, n'atema ettabi ly'omuti, n'alisitula n'alissa ku kibegabega, n'agamba abaali naye nti: “Kye mulabye nkola, nammwe mukikole mangu.”

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

48 Awo n'ayambuka ku Lusozi Zalumoni ne basajja be. N'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, n'alikwata, n'aliteeka ku kibegabega kye. N'alagira basajja be banguwe, nabo bakole nga bw'akoze.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

48 Awo n'ayambuka ku Lusozi Zalumoni ne basajja be. N'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, n'alikwata, n'aliteeka ku kibegabega kye. N'alagira basajja be banguwe, nabo bakole nga bw'akoze.

See the chapter Copy




Abalam 9:48

Follow us:

Advertisements


Advertisements