Online Bible

- Advertisements -




Abalam 9:24 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

24 Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

24 Ekyo kyabaawo Abimereki n'abasajja abe Sekemu abaamuwagira okutta bagandabe, batabani ba Yerubbaali ensanvu (70), n'obukambwe balyoke basasulwe era omusaayi gwabwe gubeere ku Abimereki.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

24 ekyejo kye baakolera batabani ba Yerubbaali ensanvu kiryoke kijje, n'omusaayi gwabwe guteekebwe ku Abimereki muganda waabwe, eyabatta, ne ku basajja ab'omu Sekemu, abaawa emikono gye amaanyi okutta baganda be.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

24 ekibi kye baakola okutta abaana ensanvu aba Yerubbaali, n'okuyiwa omusaayi gwabwe biddire Abimeleki muganda waabwe eyabatta n'abantu b'e Sekemu abaamuyambako okutta baganda be.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

24 Ekyo kyabaawo, Abimeleki n'abantu b'e Sekemu, abaamuwagira okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, basasule omusango gwabwe.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

24 Ekyo kyabaawo, Abimeleki n'abantu b'e Sekemu, abaamuwagira okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, basasule omusango gwabwe.

See the chapter Copy




Abalam 9:24

Follow us:

Advertisements


Advertisements